Bya Mugula Dan
Omumyuka asooka owa Ssaabaminisita wa Uganda akubye ebituli mu akulira eby’okulonda mu NRM Tanga Odoi era n’ ategeeza nti agenda kuddukira ewa Pulezidenti Museveni agobe akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM ng’okulonda kw’olukiiko lw’okuntikko tekunnaba kutuuka.

Kadaga era ategeezezza nti Sipiika Annet Anitah Among bwebavuganya ku kifo ky’omumyuka owookubiri owa Ssentebe w’ekibiina omukyala tasaanidde kifo kino olw’envumbo ezamuteekebwako amawanga g’ebweru nga n’olwekyo okukiikirira Bannayuganda kijja ku mubeerera Kizibu.
Bino Kadaga abyogedde bw’abadde asisinkanye abakulembeze ba NRM mu disitulikiti ye Wakiso ng’abasaba okumulonda.
Ssentebe wa akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki NRM Dr. Tanga Odoi awadde amagezi eri Rebecca Kadaga okussa essira ku kaweefube w’okunoonya akalulu, ng’amugumya n’abantu bonna nti enkola y’okulonda “CEC” e Kololo egenda kuba ya bwerufu, kuba egenda kukolebwa nga basimba ennyiriri.