By mugula @namunyenews
Pulezidenti Museveni ayongedde okukola ebyafaayo mu Uganda bwe yalonze mutabaniwe okuba nga y’akulira Amagye ga UPDF n’asirisa ababadde babuusabuusa nti Gen: Muhoozi kainerugaba tagenda kuba pulezidenti wa Uganda.

Okuva Muhoozi bwe yatongoza entekateeka nti agenda kwesiibawo kubwa pulezidenti bwa Uganda mu 2026 bannayuganda bangi baatandika okwogera ebisongovu n’ebanenya nnyo Taata we okukiiriza omwana okutandiika ebyobufuzi ng’aKyali mumagye,era ebigambo abantu byebabadde bogera kyawaliriza pulezidenti Museveni okumuwa ekifo ekyamayi nga yaddumira Amagye g’UPDF.
Gye buvudeko pulezidenti Museveni yejjako obuyinza bwa’magye nabukwaasa Gen Wilson Mbadi okuba omuddumizi omukulu owa’magye ekyareka bannayuganda nga beyoogeza obwama.
Gen muhoozi yafuuse owa’magye asoose nga mwana wa pulezidenti okuba omuddumizi wa magye mu Uganda ate ng’alimubyobufuzi nga yatuka nokutongozza “patriotic league of Uganda” (PLU )nga ekigendererwa okuvuba abavubuka okuva owa Bobi wine badde mu PLU.
Engeri gy’azze yeeyisaamu nga ali mu magye ono lumu yawandiika kumukutu gwe ogwa Twitter kati oguyitibwa X nti asoobola okulumba Kenya nagikuba kulunaku lumu nga ebigambo ebyo byawawaaza bannayuganda bangi nebewuunya Gen Muhoozi ate nga mutabani wa pulezidenti okuwandiika obubaka obuvvola egwanga eddala nebamusaba y’etondere Kenya .
Okumulonda ku bw’omuddumizi bwa’magye kyayoogeza bannayuganda ebikaankana nti pulezidenti Museveni alina kyampanga okuleta Muhoozi kainerugaba kubwa pulezidenti nga tebayise mumateka
Ssali Keith Isaac Omutunulizi w’ensonga era munabyabufuzi e Nansana atubulidde nti enkyukakyuka eno teyewunyisa kuba kati mu Uganda ekiriwo kyakwegabanya biffo wabula nagamba nti Muhoozi kainerugaba okumufula omuddumizi wa’magye sikimpya ku Museveni kyelanga mulwatu nti ne 2026 nga tanabba kutuka omutabani yandiikwata entebbe kogane kokilize .
Ono asabye abakulembeze b’ebibiina byobufuzi nabo okubeera abayiiya baatandikirewo kaweefube okunoonya obuwagizi okuva eri bannayuganda nga babulira enjiri y’obufuzi mu bantu kuba Muhoozi wajja nga tebanaba kubunyiisa enjiri yabwe yandiiwera ebibiina byobufuzi byona nga Museveni weyakola mumyaka egyayita awo natekawo omugenddo ogwawamu nga Muhoozi kyatandiise okukola nga atondawo PLU nti buli muntu ayina okwagala egwanga lye,.
Ono asabye pulezidenti Museveni ayimbule banauganda abali mu makomera olwebyobufuzi saako okumalawo omuze gwobulyake no bukenuzi Uganda egende mu maso