Bya Mugula Dan
Sipiika wa Palamenti, Annet Anita Among aweereddwa kkaadi ya NRM nga tavuganyiziddwa okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukedea mu kalulu ka 2026. Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda mu NRM okuwanduukulula Hellen Akol Odeke abadde yeegwanyiza kkaadi eno oluvannyuma lw’okukizuula nti ssi mutuuze ku kyalo kyeyawaayo mu mpapula ze wabula yagulayo buguzi ttaka

Mu geri y’emu Dr. Tanga Odoi agambye nti okusunsulwa okwa nnamaddala kugenda kutandika nga 17 okutuuka nga 30 June, 2025 mu nnaku za wiiki zokka era abagala okuvuganya balina okulabikako mu buntu n’abawagizi babiri abagenda okuyambako okusimbawo n’okubiri ku muntu eyeesimbyewo.
Okusunsulwamu abegwanyiza obubaka bwa palamenti n’obwa Ssentebe ba disitulikiti n’ababaka ba meeya b’ekibuga bagenda kugya mu kakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina mu Kampala ate nga, munisipaali ne bakansala ba disitulikiti bagenda kubeera mu disitulikiti zabwe.
Ku mulundi guno obutafaananako n’edda, abagala okuvuganya kubifo ebinne eby’awaggulu mu kibiina bajja kuba balina okukakasa nti tebabangako mu ngeri yonna ebasingisibwa omusango gw’ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka okumala ebbanga ery’emyaka 10 egiyise.
“ Tugenda kubanonyerezako kubitongole ebikessi mu ggwanga, n’ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB ne Uganda Revenue Authority n’ebitongole bya gavumenti ebirala okufuna amawulire agakwata ku bumenyi bw’amateeka kwabo abagaala okuvuganya kubifo ebyawaggulu kubanga tetwagala muntu yenna ku muntu waffe aggyibwewo ku nsonga eyo.’’ Dr. Tanga bwe yannyonnyodde.
Ebisaanyizo ebirala eby’okusunsulwamu mulimu, okubeera n’endagamuntu y’eggwanga, nga w’awandiisibwa mu NRM “Party Yellow Book ne mu National Register,” era nga oli Munnayuganda asukka emyaka 18.