KIKWASA ennaku, okubeera nga bannamawulire bakuza olunaku lwabwe buli mwaka nga May 3, kyokka ne babeera mu ssengavuddemungazzeemu! Olumu okwatibwa n’ennaku muli ne weebuuza nti lwaki bannamawulire tebasitukiramu ne balumba Palamenti oba State House, ne bateeka wansi ppeeni, Laputoopu, bu ‘Note Books’, bu Recorder, kamera, Likooda, amasimu n’ebirala nga beekalakaasa mu mirembe olw’embeera etawoomya nnakabululu gye bakoleramu!
Nkwatibwa ennaku bwendaba bannamawulire mu mulembe guno ogwa dotcom era Omutebi nga bakyavuga obugaali bumaanyi gakifuba naddala wano mu Kampala nti bagenda kunoonya mawulire, Basajja battu omusana ne gutuggwerako, enkuba n’ekuba, ne bawuttulwa, okuvumimwa, okunyoomebwa, okukenekebwa abo be baggyako amawulire, bangi nga batambuza bigere engatto ne zituuka n’okugwa olubege, ebitogi ne bisiiwuuka, ewaka bangi nga n’ezaakameeza okuzireka lwakiri bamutuma e Masaka ku bigere!
ABAKOZESA AB’AMAWULIRE BALYA MMERE KI TUGIMME ABAANA BAFFE? Olumu weebuuza n’emmere abakozesa ab’amawulire gye balya ogimme abaana bo! Mu mazima ga Katonda, ozinza otya okukozesa omwana wa munno okumala emyezi 6 oba 7 nga tomusasula ng’owoza kimu, “Genda weeyiiyize mu field..kasita twakuwa kkamera..” Yii Yii, bannange tuswaleko, omwana wa munno eyakeera ku makya n’agenda n’asoma ku busiriivu bwa ssente n’omugamba ebyo?!
Njogedde n’abamawulire abasinga ng’olunwe, basinga kuluteeka ku TV, Radio n’emikutu gy’Abalokole nti gino gyefudde mo mu butasasula bakozi, basonga ku gumu ogw’eyeeyiza Omutume e Maganjo, eyeeyita Omugagga Mbuga, Basajja battu ne bakazi battu aba See TV ne gyebuli eno bakyakukkulumira eyali nnyini yo Brutaris Kagingo obutabasasula, ate bwodda ku Delta TV ey’omugagga Gaster Lule Ntake, abaakolerayo bwe balukuviira ku ntono ku nnaku gye baalabirayo, okaaba amaziga!
MEDIA COUNCIL TERINA MAKULU; Nze nneewunya n’abakulira Akakiiko ka Media Council of Uganda, kubanga bano baateekebwawo mu mateeka nga balina okulondoola enneeyisa n’embeera bannamawulire mwe bakolera. Ng’oggyeko okuyisa ebiragiro ebitalina makulu ku mpapula kiki kye bakola? Bano bandibadde nnamuziga okugonjoola ebizibu ebiruma bannamawulire nga tetunnagenda na mu Palamenti oba amasiga ga gavumenti amalala, singa ebadde gavumenti ndala, bano bandibadde Luzira!
(Lindirira ekitundu ekirala…)
Bya Ronald Kisekka, omuwandiisi yasoma by’amawulire, y’omu ku basunsuzi ba Ono Bwino Olupapula, yawandiika ekitabo Entebe Ewooma. Muwandiikire ku; kisekkaronald42@gmail.com oba 0758007311