By mugula @namunye
Abakulu abali muntekateka y’okubala abantu mugwanga nga bakulebedwamu ssekulu we kitongole kya UBOS Chris mukiza olwaleero bwasisinkanya Omuloodi Meyar wa Kampala Ssalongo Erias Lukwango ku city Hall mu kampala okumutegeeza kunteekateeka y’ okubala abantu wekutuse era nga ono asabiddwa okuba omusaale muntekateeka eno ey’okubala abantu mukibuga Kampala ngabakunga okwetanira entekateeka eno .
Mukiza ategeezeza Omuloodi nti bagenda kubala abantu mugwanga lyona naye okujja okumusisika bakikoze okubayambako okubiliza b’anakampala okujumbira etekateka yokubala abantu nga etandise kuba ye alina eddoobozi abantu lyebawulira.
Ono agambye nti okubala abantu mukibuga kampala kugenda kuba kwanjawulo kuba begenda kubala bantu mukibuga bamanye abakiberamu emisana kwosa naabo abakibeeramu ekiro bamanye abakisulamu basobore okufuna omuweddo omutufu ogubera mukibuga kuba bakyatakana omuweddo omutuufu ogubera mukibuga kampala nabo abakiyitamu obuyisi.
Agasekko nti okubala abantu kubulako enaku 55 nga bagenda kutadika nga 10/5/2024 naye nga bagala kusoka kumanya muweddo mutufu ogugenda okuyambako okubala banakibuga era batadise okufuna abantu abagenda okuyabako ekitongole okubala abantu mukibuga kampala.
Mukiza ategeezeza nti etekateka yokubala abantu mugwanga Uganda basaazewo Kampala, Mukono Wakiso zezigenda okusebayo okubalibwa kuba bagala basooke bamanye omuweddo gw’ebyalo ,amasomero,amalwaliro, toilets mu district zino kuba zibamu ebizibu bingi nga abantu abaziberamu bakyuka buli kadde.
Ono agambye okusembyayo district ezikola ebendobeendo lya kampala bakikoze kuba okubala abantu kugenda kutwara enaku 10 nga bagala kumanya abakozi bameka abagenda okozesa mu district zino era nti okugya okusisikana load Meyar ku Kcca yegenda okubayabako okubanoyeza abantu abagenda okubala ebyaro nga tebanaba kutadika mubujjuvu kubala.
Mukiza ategeezeza nti ebyuma bikalimagezi byamaze okutuka byebagenda okweyabisa okubala abantu mu Uganda yona.
Era gambye nti omuntu yena ayagala omulimu gwokubala abantu alina okuba nga yasoma munayuganda nga alina ndaga muntu giyite national card era nga amayi okwogera oluzungu nga ayina ebisanyizo bino ayina kugenda kumukutu gwa ekitongole kya UBOS yefunile emilimu gino.
Mukwogerakwe Omuloodi Meeya agambye kumuludi guno ekitongole kya UBOS kilina okubala ebitufu mu kampala kuba besaze nga ekibuga kilimu abantu bangi kyoka mumwaka gwa 2014 webabala abantu mukampala bano bategezeza nti kampala alimu abantu million emu ekitali kitufu kuba basanga ebizibu okolera banakampala ebintu byebagala olwo kuba abakulu ababala abantu tebabawa muweddo guli mukibuga mutufu.
Lukwango agamba nti buli muntu mukibuga atankana abantu abali mukibuga nolwekyo UBOS kuluno efulumye ebibalo ebitufu nabo kibayambeko okumaya abantu abali mukibuga .
Era agambye nti mubiseera bya COVID-19 nga bo abakulebeze bafuna ekizibu kyabatu abali bagala emmere naye nga tebamanyi muwendo mutufu guli mukibuga kampala.
Nga banakibuga batuuka okufa enjala mubiseera bya COVID-19 nga tebamayi muweddo mutufu ogwagala emmere mukampala.
Okubala abantu mugwanga kuberawo buli luvanyuma lwamyaka 10 era nga okwasembayo kaliwo mu 2014 nga kwalaga nti mu Uganda mulimu abantu abasoba mubukadde 45 nga mu kampala ekitongole kino kyalaga nti muwangaliramu abantu akakadde kamu omuloodi kyawakanya.