KOLOLO WAKUNYONKA EVVUMBE ENTE EZISOBA MU 100 ZAKULIBWA MUKUSIIMA – M7 

bya namunye news

 Ng’ebula olunaku lumu okutuuka kubikujjuko byokusiima omukulebeze w’egwanga Yoweri kaguta Museveni bannauganda basabiddwa okweyiwa ekololo bajjagulize wamu ne pulezidenti byakoledde egwanga Uganda.

Bannakibiina kya NRM ku kisaawe e Kololo ababadewo mu kuyisa ebivvulu

Bwabadde awayamu nebanamawulire ssabakunzi w’ekibiina kya NRM era ngayawomye omutwe muntekateeka eno Rosemery ssenindye agambye nti basuubira enkumi n’enkumi zabana Uganda naddala Bazzukulu okujja era tuli beetegefu okubaaniriza era nabagenyi abenjawulo okuva mu mawanga ga East Africa.

Mungeri yemu  Rosemary Nansubuga Seninde agambye nti  kumukolo guno abantu abenjawulo bakuleeta ebirabo ebisiima president okusobola okutuukiriza obulungi omulamwa gwomukolo guno era nga webutukidde olwaleero ente 100 zezakasondebwa abasiima president, abaagaliza ebirungi wansi w’omwoyo gwan’okutuusa kati bakuŋŋaanyizza , ttani z’omuceere 15 ne loole 20 eza matooke, embuzi , enkoko, ssente n’ebyokunywa ebikalu okuva mu Buganda, Ankole, Kigezi,Bunyoro Toro, Rwenzori, Busoga mu ggwanga lya Busoga . ebiweebwayo ebirala bikyakulukuta mu.

Ono ategezeeza nti ebintu byonna eby’obwannakyewa ebikolebwa kabonero akalaga okusiima pulezidenti Museveni omulimu omulungi gw’akoledde uganda mu lugendo lw’enkyukakyuka mu Uganda okumala emyaka 60 egiyise n’okwagala okubeera naye okumala emyaka emirala mingi egijja 

Ssabakunzi wa NRM Rosemary Nansubuga Seninde wakati ne bannakibiina kya NRM nga bamwetolodde ku kisaawe e kololo

Era agaseko okwebaza bannayuganda bano abaagala eggwanga olw’okwewaayo  okwerekereza byona okutebekezza uganda okusiigiradala omukulembeze waffe omukulu ow’enkyukakyuka.

Ssabakuzi agambye nti ekibiina kya NRM kisanyufu nti  pulezidenti Museveni akakasizza okujja mu buntu. Kino n’olwekyo, eri Bannayuganda bonna naddala aba Bazzukulu okukwatira ddala obudde okubawo kumukolo guno ogw’Ebyafaayo.

bannauganda bangi okuva mu buli sonda beeyamye okwetambuza okugenda n’okudda e Kololo ku Lwokutaano nga 5th July 2024 okussa ekitiibwa mu mukolo guno okusiima pulezidenti Museveni  ne banne olw’ebyo bye bakoledde Uganda okuza emirembe n’obutebenkevu, eby’enfuna, ebyobulamu, demokulasiya , ebyenjigiriza, okusumulula abakyala,enfuga y’amateeka, emizannyo, ebizimbe, okwegatta mu bitundu n’enkola ya Pan-Africanism n’ebirala Seninde wa tegezeeza

Tutadde ennyiriri z’emirimu egiwerako egigenda okunnyonnyola omukolo guno.tugenda kuteekawo enkambi y’abasawo egenda okubeeramu abasawo abaagala eggwanga okuddukanya endwadde zonna, ku bwereere.

Ono agaseko nti basuubiziddwa ne minisitule za gavumenti, Ebitongole byetegefu okwolesa n’obunyiikivu emirimu gyabyo egyoleka emyaka 60 pulezidenti Museveni gy’amaze ng’alwana okukyusa Uganda, East Africa ne Africa okutwaliza awamu.

Banakibiina kya NRM bategezeeza nti  omukolo guno gugenda kusiimibwa abagenyi okuva mu kitundu ekya East Africa kino: nti waliwo bannabwe nga Godfrey Madaraka Nyerere, mutabani wa “Founding Father of the United Republic of Tanzania” era Omubuulirizi wa Pulezidenti Museveni -Omuweereza wa Katonda,Mwalimu Julius Kambarage Nyerere 

Nti balina ne bannabwe abafaanagana abava e Somalia, Ethiopia, Eritrea,DRC, Rwanda, Kenya,South Sudan n’okusingawo.

Okugatta ku ekyo, omukolo guno gugenda kunyuma n’Abakulembeze baffe ab’Eggwanga, Ebyobufuzi, Eby’Obuwangwa n’Eddiini, n’aba Diplomatic Community Seninde wa tegezeeza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *