Bya Mugula Dan
Omulamuzi wa kkooti enkulu, Emmanuel Baguma agobye okusaba kwa Dr. kizza besigye ne Obeid Lutale kwebaateka mu kkooti eno nga baagala eyimirize okuwulira omusango guno okutuusa nga kkooti ya Ssemateeka emalirizza okumulungura ensonga zebaatwalayo ezikwata ku musango oguli mu kkooti eno.
Omulamuzi bwabadde agoba okusaba kwabano agambye nti abavunaanibwa balina okusooka basomebwe emisango egibavunaanibwa olwo kkooti lwenatandika okuwuliriza ensonga z’okweyimirirwa kwabwe.
