Kkaadi ya FDC kubwa pulezidenti bw’ekibiina ya bukadde 5 obwa silingi atalina Ssente biveeko-Bamwenda

Bya Mugula Dan

Ekibiina kya FDC kifulumizza enteekateeka yakyo enegobererwa mukulonda kw’ekibiina mukalulu ka 2026 abegwanyiza  okukwatira ekibiina bendera y’obwa pulezidenti wakusasula obukadde bwa silingi 5 ate omuntu yenna anegwanyiza ekifo ky’obubaka bwa palamenti wakusasula Silingi za uganda emitwaro 100,000 zoka

Bino byonna byogeredwa ng’ekibiina kilangirira enteekateeka eyaabwe ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi nga beetegekera okulonda kwa bonna okwa 2026

Akulira ebyokulondesa mukibiina kya FDC, Boniface Toterebuka Bamwenda agmbye nti beesimbyewo ku bwa pulezidenti basuubirwa okunona empapula z’okusunsulamu nga 30 April ne 1 May nga bagenda kusunsulwa nga 5 ne August.

Kampeyini z’genda ku tandika nga ku Monday 19 May zikomekkereze nga 29 July 2025 ate olukiiko olukulu mukibiina luja kutula nga 31 July okulangirira pulezidenti w’ekibiina anabakwatira bendera mukulonda kwa 2026

okusunsulamu abegwanyiza obubaka bwa palamenti, ne ba Ssentebe ba Disitulikiti L5, okusunsulamu kujja kubawo nga 9 NE 10 june 2025 era akamyufu ekibiina katandike nga 26 june okutuka nga 5 july

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *