PULEZIDENTI wa North Korea, Comdrade Kim Jong Un, akaaye bwálagidde basajja be abakambwe okusindika gabbaaluuni agalimu obubi ne bagasindika mu ggwanga eryómulirwano bwe batalima kambugu erya South Korea.
Kim ngábamu bamuyita matama bbuutu, agamba nti okukola kino, kyavudde ku ba South Korea, okuyisa ebizindaalo bimukalakaasa ku nsalo nga bisiga obukyayi eri North Korea nókuvumirira omusajja ono ayogerwako nga katwewungu, ekintu kyágamba nti ye nga yákyali Pulezidenti, okudda ku bbeere lya nnyabo amuzaala tagenda kukiguminkiriza.
SOUTH KOREA YEERWANYEKO! Kyokka nába South Korea, olwalabye bbaluuni omuli obubi bwábantu, nabo kwekusindika baluuni, wabula ng’ezaabwe zirimu agagambo agavuma Kim nga bwáli nnakyemalira ne baziteekamu ne CD okuli ennyimba ekika kya K-Pop, kubanga zino baaziwera mu ggwanga eryo.
Mwannyina wa Kim, era nga ye mwogezi wa gavumenti, Kim Yo Jung. yalabudde nti South Korea ebagendeko mpola bajja kubakola ekintu kye balifa tebeerabidde!
Biwandikiddwa Ronnie Musajjalumbwa