Bya cbs
Ssenkulu w’ekibiina ky’obwannakyewa ekya Sisimuka Uganda Omuvandimwe Frank Gashumba asisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okumusaba ekisonyiwo ku byonna byazze amwogerera n’okumuvuma.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Franh Gashumba nabakungu babuganda kubulange
Gashumba atuukidde mu wofiisi ya Katikkiro mu nsisisnkano etakkiriziddwamu bannamawulire,
Oluvannyuma basisinkanye bannamawulire mu kisenge kya Kabineti.
Katikkiro asinzidde wano era nga “mukulu waffe” n’asonyiwa Gashumba era n’amwebaza olw’okwekuba mu kifuba n’amanya ensobi ze era n’asaba ekisonyiwo.
Katikkiro akkirizza okwetonda kwe n’agamba nti ekisonyiwo ekyesigamizza ku bigambo bya Ssaabasajja Kabaka byeyamugamba gyebuvuddeko ab’oluganda lw’omugenzi Joseph Tamale Mirundi nabo bwebajja e mbuga okwetonda .
“Okwetonda kikolwa kya buntubulamu”
Gashumba agambye nti eigambo byazze ayogera ebitajja nsa , bibadde bimumenya, era ng’azze abuulirirwa abantu abakulu mu ggwanga naddala bannaddiini nga bakulembeddwamu omwepisikoopi w’e Masaka Bishop Serverus Jjumba ne Ssaabasumba omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga.
Gashumba agambye nti yefumiitiriza ne ku bigambo bwa jjajjawe nti eyabagambanga olunye nti, “Mulwanyisanga omuntu omulala yenna naye temulwanyisanga Bwakabaka bwa Buganda”
Asabye Katikkiro era amukkirize akulemberemu ekibinja ky’Abavandimwe nabo bakiike embuga mu ngeri y’okuwagira emirimu gya Ssaabasajja.
Gashumba awerekeddwako munywanyiwe munna Gomba Hon Juma Witonze ne Sakka Ddungu.