Joseph Lusambya bamunoonya lwa bisiyaga, bamukubye kata bamutte!

Bya Norah Nakandi

POLIISI ng’eyita mu amyuka omwogezi waayo mu bitundu bya Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire, etegeezeza nga bw’eri ku muyiggo gw’abantu abaatwalidde amateeka mu ngalo, ne bakuba bubi nnyo omuvubuka Joseph Lusambya, ng’ono olumu yeeyita Andrew.

BIRIMU OKULYA EBISIYAGA: Poliisi egamba nti abatuuze b’e Mulabana okukuba Lusambya, baamaze kumuteebereza nti awandiisa nga kw’ogasse n’okuyingiza abaana abato mu bikolwa by’okulya ebisiyaga n’okuvuga empaka, abatuuze kye bagamba nti empisa z’omu Uganda ebikolwa nga bino tebabikkiririzaamu nga birina okulwanyisibwa emigigi emito gisobole okutaasibwa. Bano bongerako nti Lusambya, naye abadde yeefudde mo mu kulya ebisiyaga nga bulijjo beebuuza nti omuntu atabeerangako na mukazi mu nnyumba ye yabaaki oyo? Lusambya baamukubye bubi nyo era kaabuze kata akkirire e zzirakumwa ennyindo gye zirembekera mukoka ng’obwato. Ekyo tekyabamalidde, bakkidde n’ennyumba ye ne bagikumako omuliro yonna n’esaanawo n’efuuka muyonga.

ABADDE MUPYA KU KITUNDU: Waliwo omutuuze eyayogeddeko ne ONO BWINO, wabula ono n’atayagala kwatuukiriza mannya ge, ono yategeezezza nti Lusambya, abadde mupya ku kitundu nga ye ekinene ennyo abadde yaakamulabira wiiki 2 zokka. Kigambibwa nti Lusambya okujja ku kitundu ky’e Mulabana mu bizinga by’e Ssese, abadde yava Makindye. Wabula ekyeraliikiriza, Lusambya n’okutuusa kati amayitire ge gakyali matankane olw’okudduka mu ddwaliro gye baabadde bamututte nga kati tewali n’omu amanyi gy’ali.

BYAJJA BITYA? Guno ssi gwe mulundi ogusoose, nga Bannayuganda batwalira amateeka mu ngalo, ne bakuba abantu abateeberezebwa okwenyigira mu muze gw’okulya ebisiyaga, era okuva Pulezidenti Museveni lwe yateeka omukono ku tteeka ly’ebisiyaga, abantu bangi bazze batuusibwako obulabe omuli n’okubakuba, abalala ne battibwa.

Ennyumba ya Lusambya gye baayokezza!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *