Bya namunye news
Agambibwa okuba nti yeyali akulira akabinja k’Abayeekera ba Allied Democratic Forces (ADF) Jamil Mukulu ne banne abalala baavunaanibwa nabo, batuusiddwa ku Kkooti enkulu wano mu Kampala oluvannyuma lw’ebbanga lya myaka 5 emabega okuva lwebaasemba okulabikako mu kkooti.

Jamil Mukulu nebanne bavunaanibwa emisango okuli ogw’obutujju, obutemu, okugezaako okutta abantu, okubbisa amaanyi saako okubeera mu kabinja k’Abayeekera.