GT expert security ewangudde engule nga kkampuni y’obwannannyini esinga obukuumi.

KACITA yasimye kkampuni ya GT expert security nga securiko kkampuni esiize okoresa omutiddo kuno kwakoleddwa Ssentebe wa KACITA Thaddeus Musoke Nagenda oluvannyuma lwa kkampuni eno okulondebwa nga kkampuni y’obwannannyini esinga obulungi mu by’okwerinda olw’engule z’abantu ze balonze.

Kaboyo Godwin

Thaddeus Musoke yasabye kkampuni z’obwannannyini ez’ebyokwerinda okussaawo enkola z’ebyokwerinda mu bitundu byonna ebikolebwa okwetoloola eggwanga.

Okwebaza kuno kwakoleddwa maneja wa GT expert security company” Kaboyo Godwin oluvannyuma lwa kkampuni eno okulondebwa nga kkampuni y’obwannannyini esinga obukuumi okuva mu ngule z’abantu ze balonze.

Tulina Tekinologiya ow’omulembe agenda kuyamba okutangira abantu abatalina lukusa okuyingira mu bitundu ebilondoolebwa kiyambe okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka obweyongedde. obulabye abakuumi ab’obwannannyini abawerako nga battibwa mu bbanga lya myezi etaano nga bali ku mirimu egy’ekiro Godwin, wagambye

“Kkampuni z’obwannannyini ezikola ku by’okwerinda zirina okutandika okussaawo enkola z’ebyokwerinda”, Kaboyo Godwin   bwe yategeezezza Namunye news ,mu mboozi ey’akafubo ku lwokutano wiiki ewedde.

Omuwanguzi w’engule z’okulonda abantu yalondeddwa okuva mu kkampuni za Uganda 15 nga eyasize ye kkampuni ya GT expert security company” 

Engule zino zaagendereddwamu okuzuula ebika ebiri ku katale kkampuni za security ezituukana n’omutindo gwa Uganda mubyokweridda.

Ku ntandikwa y’omwaka guno,  omwogezi wa poliisi  mu Kampala n’emiriraano, Luke owoyesigyire  yategeeza kkampuni za securiko okussa kkamera ezilondoola, ezitambula n’enkola y’okulabula abayingirira mu bitundu byonna ebikuumibwa kkampuni z’obwannannyini ez’ebyokwerinda

Bino yabyogedde mu kugaba engule y’e mirimu gya securex ku international University of East Africa e Kansanga.

Oluvannyuma yasabye kkampuni zonna okukyusa enkola za analog ez’obukuumi okudda ku nkola ya digito ng’okulondoola kuyinza okukolebwa mu ngeri ennyangu ku gadgets ng’amasimu ttivvi n’ebyuma ebirala eby’amasannyalaze.

“Nga tulina tekinologiya ng’oyo, emmundu n’obukadde bwa sillingi tebijja kutwalibwa mu bikwekweto ng’ebyo”, Godwin bwe yagambye.

Godwin Kaboyo, yagambye nti “bakasitoma abapangisa kkampuni z’obwannannyini ez’ebyokwerinda batera okudda emabega oluvannyuma lw’okufuna z’enkola z’ebyokwerinda nga bagamba nti za bbeeyi”.

Yagasseeko nti enkola zisobola n’okulondoolebwa ku yintaneeti okutaasa kkampuni z’obwannannyini ez’ebyokwerinda okuva mu kulabirirwa ekiro ng’abakozi bangi balumbiddwa ababbi abaddirira

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *