Minisita w’obwa’pulezidenti Babirye Milly Babalanda atabukiddwa mu palamenti olw’okulonda kisakyamukama okubela omumyuka wa RDC mu Gomba nga tebasose kumanya neyisa nya n’empisa ze.
Pulesidenti Museveni yalonze omusajja wa NRM atabwekebera omuwemuzi byasanga byayogera ku mikutu migatta Bantu nga yaweleddwa obumyuka bwa RDC mu Disitikiti y’eGomba.
Kissakyamukama Yiga abadde tatya muntu yena amusala mumaaso singa bamuwa ssente nga ayizza okwetunuzamu esiimu natandika okwelikodinga nga wafulumya ebigambo ebyobuwemu.
Lumu yekwata vidiyo nga y’egyemu empale yomunda nasigala bukunya ekyaleka abantu bangi nga bamulojja okubakunamira ate nga musajja mukulu atuludde mumyaka.
Ono alabiddwako enfunda nyingi nga ajolonga abanene mu kibiina kya NRM era yatuka nokuvuma Rogers Mulindwa nga amuragira obunafusi
Bannayuganda bangi bavuddeyo nebanenya nnyo pulesidenti Museveni okulonda Kissakyamukama mukifo eky’obuvunayizibwa ate nga eneyisaye sinungi eri abantu ababulijjo.
Banabyabufuzi nadala ab’ekibiina kya NUP banenyeza nnyo pulesidenti Museveni okuwa omusiwufu wempisa obwa RDC ekigenda okumuwa amaanyi okuyiganya abali kuludda oluwakanya Mukamawe Museveni.
Ebyo kulonda Kisakyamukama kiresewo ebibuuzo bingi mu Palamenti wano omukulembeze wo’ludda oluvugannya gavumenti Joel SSenyonyi agambye nti tebayiza kukiliza muntu atalina mpisa kuba RDC era asabye Sipiika Anita among okuwaliriza minisitar okuleta kalonda yena gwe bayitamu okulonda ba RDC.
Mu kwanukula, Sipiika era asabye Minisita w’obwapulezidenti Babalanda okuyimiriza okulonda n’okuyiwa ba RCC ne RDC mu bitundu mwe babeera ng’agamba nti bakikozesa ng’omukisa okuvuganya n’ababaka ba palamenti abatuula.
Anita Among era yawadde Minisita Babalanda amagezi okufaayo ku nnyingo 203 mu Ssemateeka wa Uganda eraga nti omuntu yenna okulondebwa Ku bwa RDC oba RCC abeera munnansi wa Uganda era alina ebisaanyizo okubeera omubaka wa pulesidenti.