Bya namunyenews
Gen. w’amagye ga UPDF agudde mu kinaabiro mu makaage n’afiirawo.
Omumyuka w’omuduumizi w’amagye g’omu bbanga ga UPDF, BrigGen. Stephen Kigundu, yafudde ku Ssande akawungeezi e Entebbe.
Omwogezi wa UPDF Brig. Gen. Felix Kulayigye akakasizza bino.
“Aba UPDF basseruganda n’eggye ly’omu bbanga bagenda kusubwa Brig Gen. Kigundu mu kiseera kino ng’obuweereza bwe businga okwetaagisa okugenda mu maaso n’okunyweza obusobozi bwaffe obw’omu bbanga,” Brig Gen. Kulayigye bwe yategeezezza.
okumenya: UPDF General egudde mu kinaabiro, afiiriddewo