ABAFFE! Gen Muhoozi Kainerugaba akyazizza ow’amagye ga Rwanda ku kijjulo makeke

Bya namunyenews

Omuduumizi w’amagye, Gen Muhoozi Kainerugaba mu kiro ekikeesezza olwaleero yakyazizza munne Omunyarwanda, akulira abaserikale b’eggye lya Rwanda, Gen Mubarak Muganga ku kijjulo ku Ndere Cultural Centre e Kisaasi mu Kampala.

Ekyeggulo kino ekyabaddemu eby’okusanyusa n’emmere ey’amaanyi kyabajjukizza emiguwa egy’olubeerera egy’omusaayi, ebyafaayo n’obuwangwa obuliwo wakati wa Uganda ne Rwanda.

Ekyeggulo kino kyetabiddwaako n’omuduumizi w’amagye g’oku ttaka Lt Gen Kayanja Muhanga, akulira ekitongole ekikessi n’ebyokwerinda “DIS” Maj Gen James Birungi, Dayirekita wa bannansi n’abayingira mu ggwanga Maj Gen Apollo Kasiita-Gowa,  abakozi ab’awamu – Kaminsona w’ebyobufuzi Maj Gen Henry Masiko,Dayirekita wa ESO, Ambasada Joseph Ocwet n’akulira eby’okwerinda DPIO Brig Gen Felix Kulayigye n’abalala.

Ekyeggulo kino kiddiridde ensisinkano abaami b’amagye bombi gye baabadde nayo mu ntandikwa y’olunaku ku kitebe kya UPDF e Mbuya.

Abakulembeze b’amagye ab’oku ntikko mu mawanga gombi okukyalira buli omu ku munne kunyweza enkolagana ey’ebyafaayo era ey’enjawulo wakati wa Uganda ne Rwanda, akageri ke kiri nti amawanga gombi mu myaka egiyise gabadde ku mbiranye nga bano baatuuka n’okuggalawo ensalawo z’Amawanga gombi naddala ey’e Gatuna/Katuna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *