Gen Katumba alangiridde ebikwekweto ku abantu abakola bizinensi ku nguudo

Bya Mugula Dan

Minisita w’Enguudo n’ebyentambula Gen.Katumba Wamala  alabudde abantu abasuubulira n’okukolera bizinensi ku nguudo ne ku myala nga bateekako amatooke, ennyaanya, muwogo, ebibala, endagala n’ebirala nga basuula ebikyafu mu myala ekijiviirako okuzibikira.

Minisita Katumba Wamala alangiridde nti waliwo ebikwekweto ebigenda okukolebwa okumenya n’okuggyako ebintu ebyo ku myala n’enguudo.

Agamba nti bino bisinga mu bitundu omuli Bulenga, Bulaga, Buloba, Nakifuma, Kalagi n’awalala. Asabye abakikola okukikomya mbagirawo okwewala ebinaddirira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *