Bya namunyenews
Kisembyeyo okukka ku mmeeza yaffe kiraga nti Humphrey Mayanja, mukulu w’abooluganda abayimbi Jose Chameleone, Pallaso ne Weasel Manizo afudde oluvannyuma lw’emyezi ng’alwanagana ne kookolo mu ttendekero lya Uganda Cancer Institute erisangibwa e Mulago.
Kino kikakasiddwa ensonda mu famire ez’enjawulo omuli ne Jose Chameleon eyatadde ekifaananyi kya Humphrey nga kiriko emoji y’amaziga.
Ebisingawo bifune mu bbanga ttono.