Ensiitaano eyabadde mulukiiko lwa basuubuzi n’abakulu mu URA

By mugula @namunyenews

Ekibiina ekigatta abasuubuzi  mu kibuga kampala ekya kacita  basisinkanye abakulembeze abavunaanyizibwako kunsonga ze misolo okuli omutesitesi omukulu mu minisitule yebyensimbi  Ggoobi Ramathan , saako akulira ekitongole ekivunaanyizibwa mukusolooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority John musinguzi, wano mu kampala ku Kitebe Kya KACITA mu kampala nekigenderelwa ekyokutema empenda Butya bwebayinza okumalawo ebizibu byo’musolo omungi gwebawa kubyamaguzzi byebajja ebweru nga abasuubuzi bagala URA ebakenderezeeko ku omusolo omungi gwebabbinika saako abachina abakolera mu madduuka   nebatunda akamukamu  .

Olukiiko olwayiitiddwa abakulembeze abasuubuzi mu kampala mukwekubbira endduuru eri abakulu abavunaanyizibwa kubye’misolo olwa abachina okutunda ebintu kulayiisi nokubeera mu madduuka agalibaddemu bana Uganda nebatakomawo nebatwaala ebintu wabweru we’kibuga ngababitembeeya ekifiliza abasuubuzi nekibaletera okukonkomala nemaali yabwe mumadduuka.

Abasuubuzi bano b’abadde bategeese okwekalakasa okumala ennaku bbiri nga baggaddewo amaduuka gabwe obutaddamu kutunda bintu nga ngabalaga obutali bumativu eri gavumenti obutabayamba ku musolo omungi URA gwebagyako

Omwogezi wa KACITA Issa Ssekito agambye nti mu kiseera kino abasuubuzi tebakyakola, wadde ng’ ekiragiro Kya URA okujja omusolo ogwa doola 4 kungonye saako nokwata konteyina nezimala Ekiseera ekiwanvu nga URA tenazibawa , abasuubuzi b’abadde basaazewo okuggala amadduuka naye KACITA n’ebakoomako balemekwekalakasa nebasalawo okuyita abakulu okuva mu URA okusisikana abasuubuzi, olukuggaana  luno basooke bafune ekyokuddaamu okuva eri abakulu abavunaanyizibwako.

Olukungaana nga lukulembedwamu omwogezi wa KACITA Issa Ssekitto ategeezeza omutesitesi omukulu mu minisitule y’ebyensimbi abasuubuzi ebizibbu byebasanga okuli “container “emu okuzijjako obukadde kikumi nezigwaamu nga kino kizza “business” zaabwe emabega saako abachina abatwaala ebintu mubyaalo nebatunda akamukamu kyoka nga bandibadde mu “factory” nebaguza abasubuzi bawano .

Abamu kubasubuzi betwogedeko nabo bategezeza nti ebizibu byebayitamu wabula bawade URA sabiiti emu nyoka nti singa esongazabwe tezikolwaako muwiiki emu bano bakwekalakasa nga bajeemu engoye.

Omutesitesi omukulu my minisituule yebyensimbi ramathan Ggoobi agumizza abasuubuzi ebyookwekalakasa siyensonga emalawo obutakanya wakati wekitongole kyomusolo n’abasuubuzi .Ono era agambye nti okujyawo  omusolo tebajyagujawo naye bagenda kutula n’omukulembeze wegwanga ekizibu kino ekyokusasula omusolo omungi kikolebweko bubwangu ddala . Mungeri yemu asabye abasubuzi babeera namazima nga bogeera ebintu byebaleese revenue esobole obibalilira balabe ssente ezibirimu baleme kubajako musolo mungi.

Agambye nti kukizibu kya’bachina bagenda kinogeera endagaala abatunda akamukamu bagenda kutula ne pulezidenti wiiki ejja naye asabye bannauganda nti obutawa bachina mwagaanya kozeesa manya gaabwe nga abachina bagilawo amadduuka Ggoobi ategeezeza nti basanzze ekiziibu Kya abachina okugulawo amadduuka nebarekamu bannauganda okubatundiira ebintu kino kifiliza gavumenti omusolo.

Akulira URA, John musinguzi Ono agambye nti okuva 2021 waliwo ekiziibu kya “policy textile” nga abasuubuzi bali bagaala kwekalakasa naye nayita abasuubuzi ena’Nakawa era ebyava mulukkiiko olwo abasuubuzi nga bamugambye ebizibbu byabwe ebibaluma yawadiika ebaruwa eri minisitule ye yebyensimbi okwaguwa okugogyola ebizibbu ebiluma abasuubuzi.

Ono gambye nti waliwo abasuubuzi abali mukoola enkadde eyaliwo kumurembe gwa Idi Amin enyookukusa ebyamaguzi nga tebasasuudde musolo ekifiliza Uganda era abalabudde kinokikome kuba bakutte ebyamaguuzi bingi ebitawa musolo.

Musinguzi agambye nti bali bafulumya ekiwaddiko ekyegonye nti URA yali egenda zigyako omusolo gwa doola 4 za america buli “piece” emu nga kino URA bakikola nga besiingama ku’basuubuzi jjebagula engonye zino nga bali balimba sente entufu zebazigula.

Agasekko nti batekawo joint committee eyokunooyereza n’ebasamba buli “group” z’abasuubuzi ziweerezze abantu bbiri nga baliwamu nabakulu okuva URA baakole okunoonyereza ku ngonye basobore okuzigereekkera omusolo era URA yali eyagala etwale abasuubuzi bano e China bakore okunoonyereza naye tekyasooboka URA nesalawo ebikolere ku internet.

Wabula Musinguzi agambye nti okunoonyereza bwekwatadiika abasuubuzi nebakiddukamu kuba baatya nti byebali bagamba ekitongole kye misolo byali byabulimba.

Ono yategeezezza nti singa URA enekola okunoyereza kwanyo mu’ngonye nefuna benyi entufu abasuubuzi abamu tebagya kuyitawo kubanga kati bakeddezza ku musolo gwa engonye nga  piece emu ebadde ewa omusolo gwa doola 4, eza America naye kati bakeddeza ku’musolo nga kati  piece emu enyegonye esasula doola saatu nobutuddu butano ez’america

 okunoonyereza kungoye ez’abakyala nabaami nga baakola okunoonyereza bazitwaala mu URA rabaratory NE UNBS nga bakyalize sampo ezigenda okuva mukunonyereza era nabasaaba okusigara nga bwebabadde baakola kubanga engonye  zijja kuba baziiwa value entufu . Ono era agambye nti bagenda kola ekisoboka okulabanga  buli musuubuzi agibwaakko omusolo ogumujjamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *