Bya namunye news
Poliisi mu disitulikiti ye Luweero etandise okunoonyereza ku mmotoka y’omupunta w’ettaka eyayokeddwa abatuuze ku kyalo Kibula Nsanvu mu disitulikiti ye Luweero nga kiteeberezebwa nti entabwe yavudde ku nkaayana za ttaka.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Sam Twiineamazima agamba nti waliwo eyabatemezzaako ku nkaayana z’ettaka ezaabadde zigenda mu maaso wabula baagenze okutuuka ng’emmotoka eteeberezebwa okuba ey’omupunta eyokeddwa n’esaanawo era kati babakanye na gwa kunoonyereza ku musango guno kwossa okuyigga abaaguzzizza.
Ono era asinzidde wano neyekokkola enkaayana z’ettaka ezisusse mu kitundu wabula n’asaba abakulembeze okuzigonjoola mu mirembe