Ekiwandiiko ky’akakiiko kebyokulonda ku bitundu ebisembyeyo eby’effujjo mu kiseera kya kampeyini . 

Bya Mugula Dan

Akakiiko k’ebyokulonda kalabye ebikolwa eby’obukambwe gye buvuddeko wakati w’abamu ku beesimbyewo, ba agenti oba abawagizi baabwe, n’abakuumaddembe.

Okusingira kukiwandiko ky’akakiiko k’ebyokulonda, kavumiridde ebitundu eby’effujjo ku Lwokutaano nga 28th November, 2025, ekyavaamu okufiirwa omuntu omu n’okulumwa abalala. Ebintu ng’ebyo byeyoleka lwatu nti tebyongera mugaso ku nteekateeka yaffe eya demokulasiya.

Kino kya nnaku era kya kwejjusa olw’omulimu gwa kampeyini ogubadde, era nga gukyali mu mirembe nnyo okwetoloola eggwanga lyonna ng’abeesimbyewo abasoba mu 83,000 okuva mu bakansala abali wansi w’essaza eri Pulezidenti, bavuganya ku bifo ebisoba mu 45,000 eby’okulonda.

Kagaseko nti ebintu bino bisaana okunoonyezebwa okusobola okuteekawo ebivaako, era abamenyi b’amateeka balina okuvunaanibwa okusinziira ku mateeka agakwatagana.

Akakiiko kazzeemu okugamba nti bonna abakwatibwako, omuli abesimbyewo, ba agenti baako n’abawagizi baabwe okweyisa mu mirembe ne mu mateeka mu kiseera kino ekya kampeyini n’okusingawo.

Akakiiko kayongera okusabira abesimbyewo, ba agenti baago n’abawagizi baago okulekera awo okukozesa olulimi lw’ebibiina olusiga obukyayi, okukuma omuliro mu bantu effujjo n’okuleetawo okulwanagana. 

Akakiiko kasabye ebitongole ebikuumaddembe okulaba nga wabaawo okugoberera amateeka n’ebiragiro by’ebyokulonda nga bakozesa engeri ezeetaagisa ezituukagana n’embeera ezibaddewo mu kitundu ekimu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *