Bya Mugula Dan
Ekitongole ekivunanyizibwa okugaba amasanyalaze ekya UEDCL we kiwezezza ennaku 48 okuva bwekyanda mubigeere bya umeme era kisobodde okuteka woofiisi 100 mubitundu bya Uganda ebyegyawulo

Omwogezi we kitongole ekya UEDCL Jonan Kiiza bwabadde ku media center mu Kampala nategeeza nti ekitongole kino kisobodde okudabiriza tulansifooma 126 ezari zonoonese nga ziweza kiro 25 okutuka kukiro 100.
Kiiza gambye nti ekitongole kyafuna obukadde bwa doola 74 okudabiriza ebyuma byamasanyalaze nokugula Tulansifooma kisobozese bannayuganda okufuna amasanyalaze.
Ono ategeezezza nti ekitongole kino kitaddewo ettendekero okusomesa abakozi bakyo okubawa obukugu nga lino liri Nkokonjeru.Ono agambye nti obubbi bwe byuma byamasanyalaze bweyongede mubitundu bya Uganda ekivirideko amasanyalaze okuvavako
Ategeezazza nti bakyala kimpade betanidde okubba waaya z’amasanyalaze nokusala ebyuma ku tulansifooma ekiretedde okuvavako kw’amasanyalaze ekitadde eggwanga mumatiiga.
Ono agambye nti bakwataganye ne bitongole ebyokwerinda mugwanga okulondola abantu bano abagufudde omuzze okubba ebintu byamasanyalaze.
Ekitongole kisabye bannayuganda okuwabira abantu bona abalina omuze ebyuma byamasanyalaze ku poliisi okusobozesa okumalawo obubbi.
Waliwo abantu nga balina mita zamasanyalaze nga ekuba wetonya mita ekyakalana agumiza abantu okugenda ku woofiisi zekitongole okubawa mita endala.
Era alabudde abeeyita abakozi ba UEDCL nga bafera abantu nga babagyako ssente okubayunga ku masanyalaze nti bano bagenda kwatibwa.
Ono agambye nti ekitongole kyayingiza abamu kubakozi abali abaw’umeme abalina ebisanyizo era bakola emilimu gyabwe nga webali bakola.