By mugula Dan @namunyenews
Tukooye okutubinika omusolo Abasuubuzi balwanagaye mumaaso g’a Musinguzi wa URA.
Abasuubuzi bekkubye ebikkodde mumaaso g’ John musinguzi akulira ekitongole Kya URA nga bawakanya ekibiina kya kacita okwagala okuwamba olukiiko luno kyokka nga lwategekeddwa URA.
KACITA okwagala okwefuga olukiiko luno kitabude abasuubuzi era mangu ddala John kabanda yabase akazindaalo n’ atandikira kubakulu ba KACITA okubaremesa okogera ekidilidde bikkodde era wano abasuubuzi abadde abangi bawagidde Kabanda okuremesa aba kacita okwagala okwefuga olukiiko luno gyebigweredde nga amagye nga gali mumiryango okuwa obukumi eri akulila ekitongole URA wano olukiiko lugenze mumaso.
Akulira ekitongole ekisoloza kyo musolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority John Musinguzi yebaziza nyo abasubuuzi wonna mu ggwanga abasasula omusolo nti tofali ddene lyebatekako okukulakulanya Uganda.
Kamisona “General “Musinguzi bino abyogeredde e Lugogo mu Kampala munsisinkano yabasubuzi mu Kampala abegatira mu kiniina kya KACITA ne kitongole ki URA okwongera okutema empenda butya bwebayinza okutambula obumu nga mpawo akoseza munne.
Ono ategezeza nti okuwa omusolo kinyigiriza abasubuzi abamu naye nti kirungi kuba eggwanga kweritambulira nerisobola okuwereza abantu balyo.
Wabula era mulukungana luno abasubuzi balaze okunyolwa okutali kumu kwebayitamu omuli omusolo gwa EFRIS nga guno gugibwa ku lisiti(Reciept), abasubuuzi bategezeza nti gubalemeseza okukola era wetaaga wabewo ekikolebwa.
John Kabanda ssentebe wa basubuzi bo mukikuubo mu Kamapala agambye nti abasubuuzi bali bali mumbeera mbi lwa misolo saako aba Chaina abamamidde emirimu gyabwe.
Kabanda ategeezeza nti abasuubuzi tebakyayina ssente kuba zonna zebakolawo zigenda mumusoro nga bona bazze mubyaaro era ono asabye Musinguzi okukeddeza ku’musolo omungi gwebasasula.
Damulira John Francis nga musuubuzi mukikuubo agambye nti abasuubuzi bangi bavvude mu busuubuzi olwa URA obutatekawo musolo mutufu omusuubuzi gwalina okuwa nga owa bizinesi etono awa omusolo gwegumu nomuntu owa bizinesi enene
Ono ategeezeza nti balina ekizibu Kya ba Land load nga bogeza ssente za renti nga bekwasa URA nti yabatadeko omusolo omupya era ono asabye Musinguzi avenyo atagaze egwanga oba abagagga abebizimbe yabatereddewo omusolo omupya.
Ono agambye nti kilabika nga ensonga z’omusolo zilina kugenda wa president Museveni kuba kilabika abakulu zibalemye nga abasuubuzi balwadde ebilwadde nga nabamu baffudde olwomusolo omungi URA gwebabbinika.
Era wano abasuubuzi bangi bagenze mu maso nebalaga okunyolwa eri ekitongole kya URA olwembeera gyebagambye nti ebanyigiriza gyebayitamu era nebasaba URA Okukyuusa munkola
Gye buvudeko KACITA yategeka olukiiko ku Kukitebe kyabwe mu kampala neyiita abasuubuzi okusisikana omutesitesi omukulu mu minisitule yebyensimbi ramathan Ggoobi okumubulira ebizibbu byebasanga era wano olukiikko gyelwagwera nga abasuubuzi bagala bo kulaba pulezidenti Museveni kumubulira bizibu by’ebayitamu.
Abasuubuzi baloppedde musinguzi ebizibbu by’e basanga okuli basajja be abasoloza omusolo okulya eguzzi eyitilidde saako okukwata eby’amaguzi byabwe nga tewali songa yonna ekintu ekiza abasubuzi emabega abamu nebatuuka n’okuva mubusubuzi ekifiriza egwanga.