12/11/2025
Mugula Dan
Eggye ly’eggwanga li Uganda Peoples Defence Force (UPDF) litongozza enteekateeka y’okujaguza olunaku lwa Tarehe Sita olujjukirirwako okutondwawo kwalyo ng’omwaka guno ligenda kuweza emyaka 45.

Ebikujjuko bya Tarehe Sita bigenda kutandika olunaku lw’enkya nga 13 okutuusa omwaka ogujja nga 6 January wansi w’omulamwa “Okukuuma ebituukiddwako” ‘Protecting the Gains’. Entikko y’ebikujjuko yakubeera mu disitulikiti ye Kigezi era abakulu mu UPDF bategeezezza kino kikoleddwa kubanga Bannakigezi bangi abaavaayo nebeegatta ku eggye lino bweryali litandikibwa.
Mu bikujjuko by’okukuza olunaku luno mugenda kubaamu okutegeka ensiisira z’ebyobulamu, okugaba ebikozesewa mu masomero n’ebintu ebirala.