Eby’obukadde bw’ensimbi e 100 byogende okuranda

Bya Mugula Dan

Eby’obukadde bw’ensimbi e 100 obugambibwa okuweebwa ababaka ba Palamenti mu mankwetu biranze. 

Akulira oludda oluvuganya gavumenti, Joel Ssenyonyi mu butongole asabye Kaliisoliiso wa gavumenti, Beti Kamya okunoonyereza ku nsonga eno eggwanga limanye ekituufu. 

Okusinziira ku bbaluwa gyamuwandiikidde, Ssenyonyi ayagala Kaliisoliiso anoonyereze ku buvo bwa ssente zino, ekyaziweesa ababaka, engeri gyezaabatuukako, abaazifuna ne kyebaazikozesa. 

Kino kijjidde mu kaseera nga waliwo ababaka abegaana okufuna ssente zino ate nga abamu bakkiriza nti zaabaweebwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *