Bya Namunye news
‘Muka kitange Nalutaaya oli mulogo, onfukaamirira kunkuba ttalo!’
Engeri gye yawanguddde Paasita Male ne baganda be ababadde bamufutyanka n’okumulyako renti

Paasita Male ne muganda we Sophie ‘eyadibira ku luggya’ bazzizza omuliro
KAABADDE kaseera ka bunkenke nga Looya Male Mabiriizi attunka ne ‘Step Mother’ we, Nalutaaya Stella e Nateete mu divizoni y’e Lubaga.
Mabiriizi, yabadde agenze mu maka ga kitaawe omugenzi Mohammed Bazinduse Lulibedda, okuteekesa mu nkola obuwanguzi bwa kkooti y’e Mmengo bwe yatuuseeko, bwe yawangudde muganda we eyamwegaana Paasita Male n’akabinja ke, kkooti bwe yalagidde nti Mabiriizi wa ddembe okwegazaanyiza mu by’obugagga bya kitaawe.

Ensala eno, Mabiriizi mweyawangulidde, yaweereddwa omulamuzi Joanita Muwanika.
Mabiriizi olwatuuse e Nateete, n’awa omu ku bapangisa ku nnyumba zaabwe ebbaluwa emulagira nti enju eyo agiveemu na 30/ September/2025 terunnayita olwo Looya ono ataggwa kuwaaba atandike okugisulamu nti akooye ennaku y’obupangisa ate nga kitaawe yaleka ebyobugagga bingi okuli e Kamwokya, Lubaga n’e Nateete byonna Paasita Male n’akabinja ke beekobaana be basolooza renti ssente ne bazirya.
ENKALU NE STEP MOTHER WE: Omupangisa olwayise muka kitaawe wa Mabiriizi, Nalutaaya Stella, yenna yazze aswakidde n’alangira ‘Kamabiriizi’ okubeera akayaaye, n’amuwerekerezaako n’ebigambo nti, “Mutumba ssi y’akuzaala kasajja ggwe akayaaye, ne mu kiraamo toliimu, Mutumba yakuweerera buweerezi..”

MABIRIIZI AVAAKO WAYA: Wano Mabirizi yenna ng’alinga enswera, yalumbye Nalutaaya Stella n’amutegeeza ng’ekiraamo kye beewaanirako bwekiri ekifu, era kkooti tekikakasanga n’amulangira n’okubeera omubbi atakola atuula okulinda ssente z’abapngisa nga n’omugenzi yamulekera ennyumba y’awakati, wabula era alingiriza n’okusolooza renti mu bumenyi bw’amateeka.
Mabiriizi yavudde mu mbeera nga yenna akaalakaala n’empapula, n’avuma ‘Step Mother’ we Nalutaaya Stella agagambo agatayisika mu kamwa. Olwo nno Nalutaaya yabadde yeegasse ne muwala we Sophie Nassozi Mutumba, eyajereze Mabiriizi nti talina kyali okuggyako okukaayanira ebyobugagga bya kitaabwe, wabula wano Mabiriizi naye yamuwadde ‘levo’ bwe yamutegeezezza nti teyandibadde ye okumulangira nga yamwambazangako ppampa ng’akyali muto nga n’obufumbo bwamulema ali waka alya mmere ya maama we n’okujjuza kaabuyonjo!

Nalutaaya, oluvannyuma lw’okukuba amasimu ag’oluleekereeke, oluvannyuma yawoze n’atandika okufukaamirira Mabiriizi nti amusonyiwe bw’aba yamusobya era nti yeebale kuleeta mpapula za kkooti, ekintu Male kye yagaanye n’adduka n’agamba nti oyo omukazi mulogo, yeefuula anfukaamirira naye obwo bukodyo bwe mw’ayisa eddogo nze mmumanyi endya n’ensula.
ENJU NNINA OKUGIYINGIRA: Mabiriizi yavuddewo omupangisa amukwanze ebiwandiiko n’ategeeza nti enju agiveemu mu mirembe kubanga teyandiyagadde kukozesa lyanyi oba n’engeri endala kubanga bwekituuka awo, ate Paasita Male ne banne abwo obuzannyo Mabirizi yagambye bw’asinga okutegeera.
Yalabudde ne baganda be okuli Faizal Mutumba, Sophie Mutumba Nassozi, mukyala mukulu Hajjati Sarah Mutumba ow’e Lubaga nti bamugendeko mpola n’okukomya okugenda nga bamulangira nti Hajji Mutumba ssi y’amuzaala n’okumugaana okweyagalira mu byobugagga by’omugenzi.
PAASITA MALE AZZIZZA OMULIRO: Ng’eyogerako n’omukutu gwa The Grapevine, Paasita Solomon Male, yategeezezza nti ensala ya kkooti Mabiriizi (obwadda gw’ayita akayaaye ako) gy’agenda yeewaanisa nti, “Eri overtaken by events’, ky’oyinza okuvvuunula nti yayitako dda, kubanga omulamuzi wa kkooti enkulu etaawulula enkaaya z’amaka -Family Divison, Keitirima, yawa dda ensala n’akakasa ekiraamo kya Mutumba, Mabiriizi mw’atali.