Ebigezo bya UNEB 2025 ebya S.4 bitandise – abayizi emitwalo 432,159 bebaawandiisibwa okubituula

Bya Mugula Dan

Abayizi emitwalo 432,159 bebakedde okutuula ebigezo bya UNEB eby’omwaka guno 2025, ebitandise olwaleero, era ebigenda okusalawo ebiseera byabwe eby’okweyongerayo mukibiina ekya S.6 oba mumatendekero agawaggulu.

Jennifer Kalule

Abayizi abasoma amasomo ga Arts, bakeeredde mu lupapula lwa Geography, olweggulo bakole olupapula lwa Biology.

Omwogezi w’ekitongole kyebibuuzo Jennifer Kalule agambye nti ebibuuzo bitandise bulungi, wadde ng’ebitundu ebimu bitaataaganyiziddwa enkuba.

Jennifer Kalule Musamba,agambye nti abawala abatudde ebibuuzo n’omwaka guno basiinze ku balenzi obungi.

Minisita J.C Muyingo

Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza, Dr. J.C Muyingo, asabye abakulira amasomero obutakugira baana kutuula bibuuzo yadde nga bakyabanjibwa ebisale

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *