Collins Tanga agaanye okukkiriziganya n’ensala y’akakiiko ka NRM

Bya Mugula Dan

Collins Tanga, mutabani w’akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM, Tanga Odoi agaanye okukkiriziganya n’ensala y’akakiiko akaatekebwawo okugonjoola n’okutaawuluza enkaayana ezaava ku mivuyo egyali mu kamyufu k’ekibiina akaasazaamu obuwanguzi bwe nga kalumiriza nti akalulu kaalimu ebirumira.


Tanga agamba ensonga zonna akakiiko zekeesigamako nfu omuli eky’okuba nti kitaawe ate yeyakuliramu okulondesa.
Ono agamba wadde Tanga Odoi ye taata we teyeenyigira mu kukunga buwagizi bwe wadde okumubbira obululu wabula yakola gwakumulangirira kubanga gwe mulimu gwe ogwamuweebwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *