Bannayuganda mutwegatteko tununule eggwanga-Gen Mugisha Muntu

Bya Mugula Dan

Pulezidenti w’ekibiina ki Alliance for National Trasformation Maj. Gen. Gregory Mugisha Muntu asabye ebibiina ebirala okubeegattako banunule Bannayuganda abaludde nga bayaayaanira enkyukakyuka

Bw’eyabadde ku lediyo ya CBS kupulogulamu kiriza oba gaan Gen Muntu yagambye nti bingi ebizze nga biremesa emikago egikolebwa kyokka kumulundi guno babinogedde eddagala

Gen Mugisha Muntu yagambye nti tebasobola kukkiriziganya ku nsonga zonna naye ssinga mubaako byemukkiriziganyaako ebyo byemuba mukolako era byemuba musimbako essira

Tewali ngeri ggwanga lino  gyeriyinza kutereera okujjako ng’abantu ab’ensa batweyunzeeko bw’agambye Gen. Mugisha Muntu

Ebyokubavuma temubitya kubanga   ebivumo tebitta, mujje mugume babavume naye tutereeze eggwanga. Mmwe abantu abeesimbu abagaanye okujja mu by’obukulembeze, mmwe muleeseewo omuwaatwa olwo netufuna obukulembeze obutasaana bw’ategeezezza Gen Mugisha Muntu

Abalondoola eby’obufuzi mu ggwanga bagamba nti singa ebibiina ebikola emikago gino tebyetereeza abalonzi boolekedde okubavaamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *