Bya Mugula Dan
Bannayuganda abesunga okulonda kwa 2026 bandikoma ku munaabo oluvannyuma lw’eyali ayagala okuvuganya ku bwapulezidenti, Dr. Denis Ssemugenyi, okuddukira mu kkooti nga ayagala eyimirize akakiiko k’ebyokulonda okukuba obukonge obugenda okukozesebwa mu kalulu kano nga agamba enteekateeka yaako erimu ebirumira.

Dr. Ssemugenyi agamba akakiiko k’ebyokulonda kaagaanira bwereere okumuwandiisa mu lwokaano lw’obwapulezidenti kuba yalina ebisaanyizo byonna.
Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala, Isaac Teko ataddewo olunaku lwa nga 4 omwezi ogujja okuwa ensala ye ku musango guno era n’akakiiko k’ebyokulonda kakasizza nti tebannakuba bukonge obugenda okukozesebwa mu kalulu.