Bya Mugula Dan
Akulira ekibiina ekitaba bannamagoye mu ggwanga ki ‘Albinism Umbrella’ Olive Namutebi yeebazizza Gavumenti olw’okutongoza abantu b’ekikula kyabwe nga baliko obulemu abamanyiddwa mu mateeka. Namutebi agamba nti kino kijja kubayamba okufuna empeereza n’obuyambi okuva mu Gavumenti eyawakati.

Olive Namutebi
Kinajjukirwa nti okusinziira ku bibalo bya UBOS’ 2024 biraga nti bannamagoye bawera 78,876 era bino bijjidde mu kiseera ng’ ensi yonna egenda kwefumintiriza ku lunaku lwa bannamagoye mu nsi yonna olukuzibwa buli 13, June