Bya Mugula Dan
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi abanoonya obululu ku mitendera egy’enjawulo okukendeeza ku bizuubizo wabula banna Uganda babawe buwi birowoozo byabwe ku ngeri gyebaanaakolamu okukyusa eggwanga.

Bwabadde ayogera mu banna NRM abaagala ebifo eby’enjawulo mu Buganda nga bakulembeddwa Hon Haruna Kyeyune Kasoloo abakiise embuga, Kamalabyonna agambye nti ebisuubizo biyamba muntu sekinnoomu so ng’ebirowoozo bisobola bulungi okwesigamwako okutuukiriza abantu byebaagal.
“Mu kaseera kano oketulimu, mpulira abeesimbyewo kumpi bonna nga basuubiza abantu ensi n’eggulu, so nga basaana kuleeta birowoozo ebinaajuna omuntu wawansi…”
Mu ngeri yeemu abasabye azzeemu okukinogaanya nti Buganda tesosola muntu yenna mu langi mwajjira kubanga bonna bantu ba Kabaka abatalina kutya kujja kweyagalira mu Bulange.

“Embuga eno bwebutaka bwaffe ffenna…”
Minisita Haruna Kyeyune Kasolo era omumyuka wa Ssentebe wa NRM atwala ebitundu bya Buagnda yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’okubawa omwagaanya nabo okwetaayizaako mbuga awatali kubasosola.
Kasolo akulembeddemu abavuganya ku bifo eby’enjawulo ku bendera ya NRM mu Buganda naddala abaagala okukiika mu Parliament.
Bano baguze ne Certificate ya nsimbi obukadde 10.