By mugula @namunyenews
Entekateeka y’okuzza obujja regesita zabanakibiina kya NRM kutandise olwaleero okwetoloola egwanga era nga basentebe ba NRM balabidwako ngabatandise okuwandiisa bana kibiina nga bayambibwako basentebe bebyalo.
Mukibuga kampala mubitundu omusasiwaffe watuuse ebifo ebimu basangiddwako bawandika kwosa n’abantu abatonotono nga kulunaku olusoose banakibiina tebajumbidde.
Mubitundu ebya kisenyi 2 sentebe wakasaato Kiwana Sande ategezeza nti banakibiina bajjumbidde okwewandisa
Ono agambye nti waliwo obulwadde ate nga ekizibu mukuwandiisa abantu ku regesita olw’obutaba na “National card” nga kilabika abantu bazileka mu Bbanka
Mungeri yemu ye sentebe wa muzaana kisenyi 1 Lukwago Saadi anyonyodde nagamba nti wakwekenenya abatuuze okuzula abatuufu okusobola okutaasa ekibiina kyabwe
Ate mu zone eyitibwa buwanika namirembe road ssentebe waayo Omulangira Sulayiti Bamwenda era nga y’essentebe wa NRM mukitundukino yekokodde akamyunfu kekibiina kayogeddeko nti ye kanaluzaala akaddibaze ekibiina kyabwe kubanga abalabe bekibiina bakozesa olukujjukujju n’ebatabangula ekibiina nga balonda abantu abanafu.
Ono agambye nti bakukola ekisoboka okulemesa abalabe bekibiina abasombebwa okujja mubitundu ebyenjawulo okutabangula entekateeka z’ekibiina kya NRM
Okutwaliza awamu mu Kampala banakibiina kya NRM abaze okwewaandiisa babadde bamuswaba.