Bya namunye news
Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ayise bukubirire olukung’ana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Makerere Kavule ku ssaawa 8 ez’ettuntu lyaleero okwogera ku nsonga z’okuwambibwa kw’akulira eby’okwerinda bye Eddie Mutwe ne banne abaawambibwa ku nkomerero ya wiiki ewedde.

Bino webijjidde ng’omuduumizi w’eggye ly’eggwanga,UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba yewuunyisizza ensi bwatadde ekifaananyi kya Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe ku kibanja kye ekya X nga kiraga nti yasaliddwako ekirevu, Gen. Muhoozi neyeewana nga bweyamukutte era nti amuyigiriza lulimi Lunyaakole. Eddie Muwte y’omu ku bakuumi wa Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu era abantu babadde bebuuza gyali okuva lweyabuzibwawo wabula Poliisi netegeeza nga bwetemanyi mayitire ge.