Bamukutte lw’akweyita mukozi wa State House

Bya Mugula Dan

18/11/2025

John Mawejje agambibwa okweyita omukozi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga n’ekigendererwa okufererako abantu asindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 19 omwezi guno oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okweyita kyatali mu kkooti esookerwako eya City Hall e Kampala.


Ono nga yakwatiddwa akakiiko k’amaka g’Obwapulezidenti akalwanyisa obulyake n’obukenuzi ka State House Anti-Corruption Unit nga kakolagana n’ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango wamu ne woofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti, kigambibwa nti mu July w’omwaka guno yasinziira ku Embassy House mu Kampala naalagira mukyala Namakula Rose Mary okulabikako mu woofiisi ye gyayita ey’amaka g’Obwapulezidenti ayogereko naye ku nsonga z’ettaka lyeyali anoonyerezaako.


Mawejje yamulagira Namakula amusisinkane nga alina n’empapula z’okukyusa obwannanyini ku nnyumba gyeyaguza Weraga Robert mu mwaka gwa 2004 ng’eno eri Maganjo mu ttawuni kkanso ye Nabweru mu disitulikiti ye Wakiso ne Namakula naye kyeyakola. Oluvannyuma lw’okukwatibwa empapula zino zaamuggyiddwako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *