Bya Mugula Dan
- Pulezidenti wa balooya b’e Masaka Alexander Lule agudde mu bintu
- Akapande ka Mabiriizi kasesezza balooya
KYABADDE kijjobi nga balooya bongera Pulezidenti waabwe, omulaasi Isaac Kimaze Ssemakadde ekisanja ekirala ayongere okubafuga!
Balooya baasinzidde ku wooteeri ya Imperial Royale Hotel, ne bongera Ssemakadde nga kati ono yawang’angukira Bugirimaani ekisanja kya myezi 6 oluvannyuma eky’omwaka okuggwako.

SSEMAKADDE YABADDE KU ZOOM: Ssemakadde eyasinzidde ku Zoom nga bwasitudde ne kibbebi kye, yakuutidde balooya okulwana enfuga embi ey’amateeka naddala mu b’obuyinza, n’ayongerako nti naye ye yamutwala ku mawanga nga baagala okumusiba nga bwe baakola mukwano gwe Male Mabiriizi!
KIIZA ALYA OBUWUKA: Omanyi Eron Kiiza gwe baasiba olwokukuba emmeeza mu kkooti y’amagye e Makindye, yazze ku mukolo guno nga yeepikira entebe ya Ssemakadde, era ye ng’agamba bammemba balina okulonda, wabula nga nabo bamugamba ebadde nkola nga ebisanja ekisooka bwekiggwako, ng’aliko bamwongezaayo omwaka gumu awatali kulonda, era kino bwekyali ku Phiona Wall Nabasa, Ssebatindira, Bernard Oundo n’abalala.

ERON KIIZA YEECWACWANA
Looya Omulongo Kakuru olwabasuuzizza ekyokulonda, n’aleeta ekiteeso nti bongezeeyo emyezi 3, ekintu balooya kye baaganye, era wano Kiiza yatandise okuleekaanira waggulu, kino kyaleetedde omu ku bakozi ba Ssemakadde okuyita babbaawunsa abaabadde ku mulyango, era ne bajja ne baagala okumusitula bamufulumye nga talinnya wabula ne yeekimako oluvannyuma.
Wabula waayise akaseera katono, Kiiza ne Kakuru ne bakwatamu obwabwe ne bafuluma emisinde, era Kiiza n’agenda ku kibanja kye, akalulu kano n’akageraageranya ku ka NRM ak’ekiyaaye!

OW’E MASAKA AGUDDE MU BINTU: Pulezidenti wa balooya be Masaka, Lule Alexander owa kampuni ya Xander Advocates, yagudde mu bintu, bwe baamulonze okukiikirira abantu bomu Buganda ku Lukiiko lwa Uganda Law Society.
MUNAABI BAMUNAABIDDE MU MAASO
Ye Godffrey Turyamusiima ne munne Philip Munaabi, baabanaabidde mu maaso ne babagoba nga babalumiriza okugoba Ssemakadde mu bukyamu, ne beewang’amya mu bifo ebyo.
MABIRIIZI ASESEZZA BALOOYA: Looya Mabiriizi yasesezza bakira balooya abayingira bwe baamuteereddewo emmeeza ye n’ateekako akapande nti ye “Stategic Envoy” wa Ssemakadde, era obwedda olukasoma nga baseka nga bagamba, akasajja kano kalina amakyati! Anti ono ekyamugaanye okuyingira talina bbaluwa ya LDC ng’abeera kuyingira bandikikozesezza nga ekyekwaso nti mu lukiiko mwabaddemu n’abatali bammemba.