Bya namunye news
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ndagamuntu mu ggwanga ekya NIRA, kirangiridde enteekateeka y`okuzza obugyga endamuntu za bannauganda okwekikungo, okwetoloola eggwanga lyonna.
Kawefube no alangiriddwa, agenda kutandika ng`ennaku z`omwezi 27th May,2025, era naabo abaagala okwewandiisa okufuna endagamuntu omulundi gwabwe ogusookera ddala, basabiddwa okweyambisa omukisa guno.
Ssenkulu w’ekitongole kya NIRA Rosemary Kisembo, bwabadde alangirira enteekateeka zino ,ategeezezza nti balina eddimu ddene okuzza obuggya endagamuntu obukadde 15 nemitwalo 80, ate era bawandiise endagamuntu empya obukadde 17 n’emitwalo 20.
Okuwandiisa kuno kugenda kubeera ku mutendera ogw`omuluka, okuva ku bbalaza okutuuka olw`omukaaga.

Ssenkulu we NIRA Rosemary Kisembo
NIRA egamba nti buli kifo webawandisiiza bagenda kuteekawo obuuma 10, nabakozi abakugu abagenda okubukozesa.
NIRA egamba nti wateereddwawo enkola zamirundi ebiri Bannauganda mwebagenda okuyita okwewandiisa, abamu bagenda kusooka kuyita ku kibanja kya NIRA munkola eza digital, bagende okutuuka ku muluka nga bamaliriza bumaliriza n`omutendera ogusembayo ,okuli okugyibwako ebinkumu, okukubwa obufanaanyi n’ebirala.
Wabula naabo abatasobola nkola za digital, batereddwawo abakugu abagenda okubayambako naye nga kino kijja kubaleetera okulwawo mu kifo.
NIRA egamba nti olw`okuba ebyuma ebigenda okweyambisibwa munteekateeka eno erina bitono, abantu baabwe tebagenda kumala week namba ku muluka gumu, wabula buli muluka bagenda kugumalako ennaku 3, n`oluvanyuma badde ku muluka omulala
Ssenkulu wekitongole Kya NIRA Rosemary Kisembo, agamba nti webawandiisiza bagenda kuteekawo emiteeko esatu, okuli omuteeko ogulimu abaana aabatannaweza myaka 5, abakadde, abakyala ab’embuto naabaliko obulemu.
Omuteeko omulala gulimu abo abagenda okwewandiisa omulundi gwabwe ogusookera ddala okufuna endagamuntu, ate omuteeko ogusembayo gwegwabo abataliko buzibu bwonna.
NIRA egamba nti abaana abato abali wansi we myaka 18 basuubira okwendisa nga abatafunangako Ndagamuntu, wabula bwewanabaawo omuntu Omukulu naye nga azze kujifuna mulundi gusooka, oyo bagenda kusooka kumwekebegya nnyo.
NIRA egamba nti okuza obugya endagamuntu kwabwerere.
Wabula NIRA egamba nti abo abaagala okubako enkyuka zebakola mu Ndagamuntu zabwe, bano bakusasula emitwalo 20 zoka.