AMASASI GANYOOSE MUBALAKISI OMU AFUDDE

Bya Mugula@Namunye

Poliisi mu Disitulikiti y’e Nakaseke etandise  okunoonyereza kutemu eribademu amasasi n’okugezaako okwetta okwabaddewo eggulo ku Mmande nga 3 March 2025 mu Kaweweta Basic Military Training School akawungeezi keggulo ku musango namba 1500/c ne 1800/c ku poliisi y’e Kyinyogoga. 

Omugenzi amanyiddwa nga Kebirungi Kella Adyeri ate omutemu ye L/CPL Ssserunkuma Denis nga musilikare we  Kaweweta Army Training School. 

Abatuze bagamba nti omutemu yabadde mufumbo n’omugenzi babadde basula awamu mu bbaalakisi y’amagye e Kaweweta era okuva ku makya g’eggulo baabadde bayomba mu nnyumba yaabwe nti omugenzi yagaana okuteekateeka emmere.

Kigambibwa nti ku ssaawa nga 9:00 omugenzi yava mu nnyumba yaabwe ng’adduka omutemu eyayina emmundu yekika kya  SMG n’akuba omugenzi amasasi ku mutwe era n’afa mu kaseera ako.

 Amangu ago omutemu yakyusizza emmundu okwetta ekirungi yeekuba amasasi ku kalevu n’atafa.

Twiineamazima sam

Omwogezi wa Poliisi mu savannah ASP Twiineamazima Sam yategeezeza nti bafunye amawulire okuva mubatuuze era poliisi basitukidemu mu bwangu okula ogubadde n’ebawandiika omusango gw’obutemu n’okugezaako okwetta okuva mu bajulizi eri abantu abakwatibwako, omutemu yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Kaweweta Military Health Center IV okujjanjabibwa era omulambo ne guweebwa eddwaaliro ly’amagye erya Bombo amagye okukeberebwa omusenyu. Eby’okwolesebwa byonna amagye gaatwalibwa okwongera okugaddukanya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *