AMAGYE G’OMUKAGO GASSE OWA ADF

Bya namunyenews

Omuduumizi w’ekibiina ky’abayeekera ekya ADF nga amanyiddwa ennyo ‘Baghdad’  eyattiddwa ku Lwakuna nga 4th April 2024 mu kikwekweto ekyakoleddwa Amagye omukago ga Uganda  ne Congo mu nkola ya Operation code egenda mu maaso -etuumiddwa erinnya “Shujaa.”

Aba UPDF aba mobile squad wansi w’ekibinja ekyo ku 3 ekyo’mu nsozi, nga bakolera wamu n’amagye ga Congo, basse ‘Baghdad’ mu bitundu by’e Ambusire, mumabuka agasagibwa mu Tingwe, kiromita 16.5 okuva mu kabuga k’e Elengeti mu ssaza ly’e Ituri.

Omuduumizi wa ADF amanyiddwa ennyo kigambibwa nti yazaalibwa Kyazanga, mubitundu bye Masaka, mu maseregeta  Uganda.

Omwogezi w’ekikwekweto kino ekimanyiddwa nga Operation Shujaa ,Maj.Biral Katamba,yagambye nti emmundu emu ey’ekika kya “sub-machine gun” ng’eriko magazini bbiri, amasasi 31, bbomu emu ne leediyo y’amagye emu (walkie-talkie) zazuuliddwa.

Katamba era yagambye nti amagye g’omukago ga kyagenda mu maaso n’okuyigga n’okussa akazito ku batujju ba ADF ababuna emiwabo mu bibinja ebitonotono okwewala obulumbaganyi bwa UPDF n’ egye lya Congo.

Olw’okuba baali bafulumye okuva mu kiwonvu kya Mwalika mu mambuka nga Kivu mu mwaka gwa 2023, omuwendo omutuufu ogw’abayeekera ba ADF abasenguka mu bukiikakkono bw’amaserengeta mu Beni-Kamanda road mu bitundu bya Mambasa ebya bulijjo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *