Bya mugula dan
Omuyimbi Mulwana Patrick amanyiddwa nga Alien Skin asiimbiddwa mu kooti e Makindye naavunaanibwa emisango gy’obubbi.
Kigambibwa nti nga 28 September,2024Alien Skin yabba essimu ya Mubiru Salim kika kya Iphone ng’ebalirirwamu obukadde bwa shs 3.5, ensimbi enkalu emitwalo 480,000, ne wallet ye eyalimu endagamuntu ye, saako okumutusaako obuvune.
Emisango Alien Skin agyegaanye naasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 09 December,2024.
Alien Skin webamukwatidde nga kigambibwa nti abadde yenyigidde ne mu bikolwa by’okukuba abasawo n’omukuumi ku ddwaliro e Nsambya, oluvannyuma lwa munaabwe Joram Tumwesigye gwebabadde babeera naye mu Fangone Entertainment okufiira mu ddwaliro lino.
Alipoota ya police yalaze nti Tumwesigye yafudde oluvannyuma lw’essaawa emu ng’atuusiddwa mu ddwaliro, nga kyavudde ku bisago eby’amaanyi byeyafunye bweyakooneddwa emmotoka mu bitundu bye Makindye.
Police egamba nti alina n’emisango emirala mingi egy’okutuusa obuvune ku bantu egizze gimuvunaanibqa.