Bya MugulaDan
Ofiisi eno etuumiddwa Boda Boda UNION .Ezimbiddwa okuyamba abavuzi ba Boda Boda okubera n’obumu nokutusa ensonga zabwe eri bekikwatako nga waliwo kyebemulugunya ekikwata n’omulimugwabwe .Essiddwaamu kompyuta n’bakozi abali ku ddaala erya waggulu mu BODA BODA okusomesa buli owa boda boda by’ayagala okumanya.

Frank Mawenje yategeezezza nti tewali wa BODA BODA akkilizibwa kusasulira ssente mu offisi eno kuba zizimbiddwa kwanukula bwetaavu bwa bavuzi ba BODA BODA bwe balina okumanya kubikwata kusonga za BODA BODA.

Abavuzi BODA bODA bamaze ebbanga nga basattira nga beebuuza oba zigenda kukozesebwa kulondoola nkola za musolo kyoka Mawenje annyonnyodde abavuzi boda boda nti zaakubasomesa n’okukola ku bizibu bye bafuna mu mulimu guno ogwa boda boda era tewakyali nsonga lwaki owa boda boda bandibadde mugenda e kampala ku kitebe okwebuuza ku bikwata ku mulimu gwa boda boda ate nga buli kimu bakibasemberezza kumpi.Omukolo gw’okuggulawo offiisi gwetabidwaako abakulembeze okuva ku poliisi banabyabufuzzi kosa nabavuzi ba bodaboda nabakulembeze ba LC MU kitundu ne basiima Frank Mawenje okubasembereza empeereza ne we bakolera.

Atwala poliisi yebiduuka MU Kampala SP BK OINEBYE yasuubizza aba Boda Boda nti amaze ebbanga ng’abawuliriza mu nkiiko ez’enjawulo era yalagidde abasirikare bebiduuka bawulirize ate bayambe buli muvuzi wa BODA BODA