Akena alabudde ababaka mu palamenti okwewala ekiteeso ekizzaawo kkooti y’Amagye

Bya Mugula Dan

Pulezidenti wa Uganda People’s Congress (UPC) Jimmy Akena alabudde ababaka ku ludda oluvuganya nabali mu gavumenti obutakemebwa kusemba kiteeso kizzaawo kkooti y’Amagye nti kubanga bagenda kuba bazaalidde eggwanga ebizibu naddala mu kiseera kino ng’eggwanga ly’etegekera akalulu kabonna aka 2026.

Akena agamba nti bo nga UPC baakukola ekiri mu busobozi bwabwe okulaba nga bawakanya enteekateeka eno.


Okwogera bino Akena abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina ku Uganda House

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *