ADF BESOZZE UGANDA UPDF EBOGODDE!!!

By mugula @namunyenews

Bana Uganda basabiddwa okuba kubwerinde olw’abatujju ba “Allied Democratic Forces” (ADF ) abamaze okwesogga Uganda bw’abadde ayogerako  neba namawulire amyunka omwogezi w’egye lye Gwanga erya UPDF Col, Deo Akiiki akakasizza nga bwe bagenda okufeffetta abatujju bano nga bwebakola okubakuba omwaka oguwedde era waliwo aba ADF  abamaze okuyigira.

Akiiki ategeezeza nti akabinja akasooka akalumba esomero lya mpondwe Lhubiriha kalyoke katugumbure abaana 41 mu June wa 2023 , bakasanyawo era kati  waliwo akabinja kabatujju 10 abesozze Uganda okuva mubibira by’e Congo ng’a bano baddumiddwa omusajja enzalwa ye Kenya Muhammad Abu Hasan nga ono atera okweyita Abu Wakasi mubalala kuliko Muhammad Isa, Muhammad Lumisa, kwosa ne Naser Muhammad Dhiru.

Ono alabudde naddala abantu abawangalira mubifo omukunganirwamu abantu abangi okuli Amasinzizo, amasomero ,Amalwaliro kwosa nebifo ebifanana webityo okuba abegendereza kubantu bebatategeera mubitundu byabwe nokwewala emigugu ejitategerekeka okusobola okwerinda obutujju bwabajambula bano.

Akakasizza nga ebitongole byona eby’ebyokwerinda ngawebakolaganira awamu era bakola ekisoboka okulinya kagere kukagere abatujju bano abamaze okwesogga Uganda.

 kinajjukirwanti ADF omwaka oguwedde yalumba essomero mubitundu ebyekaseese nebatta abayizi abawerako kwosa n’okulumba abalambuzi abagwira nabo nebabamiza omusu era bano bebamu  mumwaka gwa 2021 abatujju ba ADF balumaba Uganda era bano batega bomb mu kampala nga ku CPS, ne Jubilee building okulirana parliment era abantu abawereradala 37 bagenda nebisango

Mukisera ekyo omwogezi wa poliisi mugwanga Fred enanga yategeezeza nti bali bamaze okwata abantu 35 nga balina akakwate kubatujju era 25 batwalibwa mu kkooti nebawenemba nejjobutujju.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *