Abeegwanyiza entebe y’Obwapulezidenti bakusunsulwa omwezi guno

Bya Mugula Dan

Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo olwa nga 23 ne 24 omwezi guno okutandika okusunsula abeegwanyiza entebe y’Obwapulezidenti mu kalulu kaabonna aka 2026.


Wano Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu Ggwanga, Omulamuzi Simon Byabakama wasaabidde abeegwanyiza entebe eno okutegeka ebisaanyizo ebyabasabibwa omuli obukadde bw’ensimbi 20, emikono egibasembe n’ebirala kiyambeko okwanguya enteekateeka y’okubasunsula.
Okusinziira ku Byabakama, okusunsula kuno kugenda kukolebwa Lweza ku kifo webagenda okuzimba ekitebe ky’akakiiko ekijja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *