Bya Mugula Dan
Ssentebe w’ekibiina ki Justice Forum JEEMA Hajji Kibirige Mayanja akakasiza okugoba abamu ku bakulembeze b’ekibiina ne baalonda abapya.

Ababiri ku bafuumudwa ku bukulembeze bw’ekibiina besowolayo gyebuvudeko nga begwanyiza Entebbe y’obukulembeze bw’ekibiina.
Kuliko Abdulnoor Kyamundu abadde omwogezi w’ekibiina era minisita w’ensonga z’amawanga amalala mu kibiina kino ne Gamba Bukhari naye abadde yegwanyiza entebe y’obwa pulezidenti bw’ekibiina, era y’abadde ssaabakunzi w’ekibiina.

Abdulnoor Kyamundu
Wabadde ayogerako ne banamawulire kukitebbe ky’ekibiina ki Jeema Hajji Kibirige akatiliza agambye nti ssemateeka abawa obuyinza okulonda abantu baabeera bagala okwongera ku ntambuza y’emirimu mu kibiina
Era balonda Dr Shuaib Kaggwanga nga omwogezi w’ekibiina,Hadija Babirye alondebwa okukulira abakyala mu kibiina ne Gwaivu Mubashar nga ssabakunzi w’ekibiina.
Gamba Bukhari omu kubagobedwa mu kibiina agambye nti kikwasa ennaku okubeera n’ekibiina nga abakikulembera tebagala kubavuganya, era nti kyekimugobezza ku bukulu.
Abadde omwogezi w’ekibiina kino Abdulnoor Kyamundu agambye nti pulezidenti wabwe kyasinze okukola mu kisanja kye kwekugoba abantu ,nawera nti tebagenda kukkiriza kibiina kyabwe kugenda mu NRM.
Wabula Hajji Kibirige ategezezza nti enkyukakyuuka ezikoleddwa Pulezidenti wabwe zakutereeza entambuza y’emirimu mu kibiina, nga betegekera akalulu ka 2026.
Bino bijidde mu kiseera ng’obugulumbo bweyongedde mu bibiina ebivuganya government ebiwerako, okuli FDC yayawulwamu ebiwayi 2, DP, NUP n’ebirala.
Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya JEEMA katandiise okunoonya ssente ez’okutuuza tabamiruka owa Jeema .