Abazadde mukkirize muweeyo abaana bagembwe-Dr Ruth Achenge

Bya Madinah Nakiyemba

Emmotoka Toyota Land cruiser eziwera 28 z’ezitongozeddwa okusobozesa okwanguya kawefube wa gavumenti ya Uganda okugema abaana okwetoloora egwanga 

bwabadde atongozza emotoka zino Minister avunanyizibwa kubyonulamu Dr Jane Ruth Achenge asinzidde Kajjansi Kukitebe Kya National Medical Stores ategezeza Nga emotoka zino ezisoose okutongozebwa Nga bwezigenda okusindikibwa mu bendobendo lye Busoga kubanga w’ewasinze okuzulibwa abaana abatagemebwa ndwadde ezenjawulo.

Kapyata z’emmotoka

Ono yebaziza gavumenti yakuno kwosa n’ebitongole ebibakwasirizako natendereza n’omutindo emotoka zino gweziriko ngazazimbibwamu firigi ezikuuma eddagala ngateryononese Nga nabakulu abatika ebitereke mumotoka ezibawebwa kuzino tezijja kusoboka kubanga mutulamu abantu batono Nga ekifo ekisinga kyaddagala.

Ono asabye abasajja okukendeza kukwekatankira amagengere ekibavirako ekizibu eby’enjawulo era nagamba nti kuluno emotoka zino zakuvugibwa bakyala kubanga besigika era nabasiima obuwereza obulungi

Emmotoka zino zimazewo Akakadde kaddola 1.6million dollar era ngabazisubira okutuusa obuwereza okumala mubusoga era Nga nebitundu ekirala byakuwebwa entambula zino gyebujja

Dr Ruth Achenge agambye nti Emotoka zino zilina kola mulimu gw’abyabulamu gokka si bantu abefula nti banene mu gavumenti ne baziwamba n’ebatandika zikozesa milimu gyabwe.

Minisitule egenda kutwala obuvunanyizibwa okulondola emotoka zino mu Disitulikiti gye zigenda okukolera okulaba nga zili kwekyo kyenyini ekyazitesezawo okukola omulimu gw’ebyobulamu mugwanga okulemesa abantu okuziikozesa emilimu gy’okusomba amanda.

Gavumenti efuba okusitula ebyobulamu mugwanga nga bayita mu bintu ebiyamba buli muntu okutwalira ewamu nga zino emmotoka ezigenda okutabuza eddagala ate zilina ffiriigi ekuma eddagala nga damu,Dr Ruth Achenge weyategeezeza

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *