Abavubuka mwewale banabyabufuzi ababasenda okwekalakaasa-Kiwana

Bya Mugula Dan

Eggwanga Uganda nga dinatera okugenda mukalulu akajja aka 2026, ssentebe w’ekyalo kya kasaato zonni Kiwana Sande Nkoyooyo, asabye abavubuka okwewala banabyabufuzi abayiza okubakozesa ensobi n’emugwera mumakomera.

Ng’ayogerako ne banamawulire kuwoofiisi ye agambye nti abavubuka kuluno balina okwebereeramu nga egyogeera y’enaku zino kuba bangi buli wetugenda mukulonda bagwera mumakomera olwa abantu abenonyeza ebyabwe ababakozesa ensobi.

Kiwana asabye abavubuka obutenyigira mukwekalakasa wabula bafeyo nnyo okweyigira mumilimu egivamu ensimbi basobole okwekulakulanya.

Kiwana Sande Ssentebe wa Kasaato zoni

Ono abalabudde obutagoberera banabyabufuzi abasiga obukyayi n’egyawuukana mubantu.

Yebazizza pulezidenti Museveni olw’okutekawo ensimbi ne bintu ebyegyawuro ebiyabye ennyo abavubuka okuva mubwavu nga PDM Etandikwa n’okutondawo amasomero ekiyambye ennyo abaana okusoma 

Asabye abakulembeze abatwala Ekibiina by’obufuzzi okuli NUP,FDC,PFF n’ebirala obutasiga bukyayi mubantu nga tunatera okutuka mukalulu akajja aka 2026 bafube okolesa demokulasiya waleme kubawo butabanguko mu Uganda.

Yebazizza pulezidenti Museveni olw’okutekawo eddembe dy’okulonda bannayuganda nebasobola okweyigira mu kalulu ekiraga nti Uganda esevude mubyobufuzi eri kumwanjo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *