Bya Mugula Dan
Akakiiko mu kibiina kya NRM akeby’okulond kakomekereza okuwandiisa ban’akibiina abagala okuvuganya mu kamyufu ka NRM ku mutendera ogw’ababaka ba palamenti neba Ssentebe ba Disitulikiti.
Bannakibiina abasembyeyo okujjayo ddala empapula, okuli Omoding Herbert Omo ayagala okuvuganya ku kifo ky’omubaka we Mukono municipality .
Omoding Herbert
Ono agambye nti okujja okuvuganya mukamyufu k’ekibiina ki NRM ayagala kujjayo Betty Nambooze mu Palamenti kuba aludeyo nnyo nga talina kyakoledde bantu be Mukono.
Abalala kuliko Wan Jake Frederick ayagala okuvuganya ku Ssentebe wa LC 5 Namutumba Disitulikiti , ate nga n`essenga Kalaakata Agnes Namboyera naye aggyeyo empapula okuvuganya ku ky`omubaka wa Lyantonde Disitulikiti

Ssenga Kalaakata ategezeeza nti basazeewo okuvuganya batereeze ebizibu government yabwe byebadde tenakolako.
Kiyonga Francis naye yewandiisizza okuvuganya ku ky’obubaka bwa Parliament okukiikirira Pokot County mu Disitulikiti ye Amudat.
Kadaga Fred, naye agyeyo empapula okugenda mu Constituency ye Bugabula .

Mugambe Williams, naye aggyeyo empapula okuvuganya ku kifo kya Ssentebbe wa district e Buwekula
Kati omugatte, gwa ba memba 2,800 bebaggyeyo empapula okuvuganya mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo