Bya Mugula@namunye
Abavubi ku mwalo gw’e Nakiwogo mu disitrikiti ye Wakiso bali mu kutya olwénkoonge ekutte ku mazzi génnyanja Nalubaale, abavubi gye bayita Mubiru bagamba nti etaandise okutta ebyennyanja.

Abavubi bagamba nti wadde kitera okubaawo Mubiru naakwata ku nnyanja, naye ku mulundi guno kiruddewo okuta era kigenda mu myezi 2 ngénkonge teseguka, ekivuddeko ebyénnyanja ebito okutandika okufa.
Wabula embeera eno ewaliriza abatwala ebyobutonde bwensi mu disitrikiti yé Wakiso okugenda e Nakiwogo beetegereze embeera, era batutte amazzi geekebeggyebwe abakugu.
Ekibinja kuno ekikulembeddwamu akulira ebyobutonde Nnaalongo Rebbecca Bukenya Ssabaganzi ngóno asabye bakomye okwonoona obutonde bwénsi, nágamba nti embeera eno ebayinze nga district kwe kusaba ministry yébyamazzi nóbutonde ebakwatireko mu bwangu.
Kabwama Charles omumyuka wa meeya wekibuga ky’ Entebbe era nga yavunanyizibwa ku byobulamu ku lukiiko lwa municipality, agambye nti beeraliikirivu olwa kasasiro omungi ayiibwa mu kitundu kyabwe, okwo ssaako amakolero ageetoolodde ennyanja agatalondoolwa kimala okukugirwa okuyiwa kasasiro nga bwegasanze, nti kyandiba nga kye kimu ku bivuddemu obuzibu.