Bya Mugala Dan
Babazimbidde ezizi ez’omulembe
Abatuuze ku byalo 17 ebikola division y’e Bweyogerere mu Kira Municipality mu wakiso disitulikiti, esaanyu libula okubatta olw’abazira kissa okubaddukirira nebabazimbira ezizi ez’omulembe

Hakiza ng’ayogera eri abatuuze
Bwabadde atongozza ezizzi biri ezisoose okuzimbibwa ku kyalo kya Kireku Main Hakiza Dickson , era nga ye ssentebe w’ekyalo kino ategezezza nti babadde n’ekizibu kya mazzi ng’a abaana abato batambula engendo mpaavu mu kiro nga banoonya ewali amazzi amayonjo ekibadde kiteeka obulamu bwabwe mu matigga, kyokka nga ezizi zeezimu

Enzizi ezagguddwawo
n’ebisolo omuli ente ,embuzi ebitayaya ku kyalo nazo mwezinywa ekibadde kigenda okubavirako okulwala enddwadde ,wabula olw’okubazimbira ezizzi ez’omulembe ekizibu ky’okugabana amazzi n’ebisolo kiweddewo.
Ezizzi ezibiddwa ebiri zizimbiddwa mu bitundu omuli mu Obel Hote l nga oluzizzi luno aba China abazimba ezimu ku kampuni mu kibangirizi kya Makolero e Namanve baddukiridde abatuuze n’ensimbi obukadde 3000,000 ne ttaka . Oluzzi olulala luzimbiddwa mu maka ga Abas Mutaawe Ssentebe wa NRM ku kyalo kino , okuluzimba bayambiddwa abazira kissa okuva mu kampuni ya Global Human Salvage Organisation Ltd.

Hakiza Dickson
Hakiza eyeegwanyizza ekifo kya ssentebe wa division y’eBweyogerere mu kalulu akagya ategezezza nti etekateeka y’okuzimba y’okuzimbira abatuuze ezizza ez’omulembe egenda kusasanira ebyalo 17 ebikola division y’e Bweyogerere ,alagidde abatuuze okusasula nga nnusu 50 buli kiddomola kubanga ssente zino zizezigenda okukunganyizibwa bazigulemu amasanyalaze kubanga amazzi gano gasimiddwa okuva wansi mu ttaka nga okugya gatakozesa masanyalaze.
Abatuuze okuli Jessy Nsiyona yebazizza Hakiza olw’okubayirawo omubiri n’abasakira ezizi ez’omulembe kubanga babadde n’ekizibu kya mazzi mu bitundu , nebasaba abatuuze mu byalo 17 mu division y’e Bweyogerere okulaga okusiima kwabwe eri Hakiza nga bamulonda ku bwa ssentebe bwa division y’e Bweyogerere mu kalulu akagya

Enzizi ezigguddwawo
Abass Mutaawe ssentebe wa NRM ku kyalo kino eyawaddeyo ettaka ewazimbiddwa oluzzi asabye abatuuze okukwata obulungi pulojekiti ezibawereddwa kubanga zigenda kubayamba okukulakunya ebintundu byabwe ,nalabula Hakiza okubaamu omwesimbu mu by’obufuzi bye byalubirira.